LG/Prabhupada 0008 - Krishna Akyeyogerera Nti 'Nze Taata Wa Bulyoomu.'



Janmastami Lord Sri Krsna's Appearance Day Lecture -- London, August 21, 1973

N'olwekyo, waakiri ebuyindi, abantu bonna abamaanyi, abatuukirivu, abayivu neba ācāryas, basobodde okunyikiza obwiino buno obwomwooyo mungeri ensuffu, kyokka ffe tulemeddwa okweyambisa omukisa ogwo. Tekiri nti śāstras ezo nennambiko byabayindi bokka oba abahindu oba bba brāhmaṇas. Nedda. Ebyo byabulyomu. Kubanga Kṛṣṇa akyetekako mu

sarva-yoniṣu kaunteya
sambhavanti mūrtayaḥ yāḥ
tāsāṁ mahad brahma yonir
ahaṁ bīja-pradaḥ pitā
(Bg. 14.4)

Kṛṣṇa akyetekako nti " Nze taata wa buly'omu." N'olwekyo, afaayo nyo okulaba nga ffena tulimuddembe, n'essanyu. Ng'era taata bweyandyaagadde okulaba mutabaniwe nga akkalidde eranga musanyufu. Ne Kṛṣṇa ayagala okulaba buly'omu kuffe nga musanyufu eranga akkalidde. N'olwekyo ebiseera ebimu ajja kunsi kuno. (BG 4.7) Yadā yadā hi dharmasya glānir bhavati. Eno yensonga ereetera Kṛṣṇa okujja kunsi kuno. Kalennaabo abaddu ba Kṛṣṇa, abakkiririza mu Kṛṣṇa, Basaana okutabuza ekigambo kya Kṛṣṇa. Basaana okutambuza ekigambo kya Kṛṣṇa. Bwaati Caitanya Mahāprabhu bwakirambika.

āmāra ajñāya guru hañā tāra ei deśa
yare dekha, tare kaha, 'kṛṣṇa'-upadeśa
(CC Madhya 7.128)

Kṛṣṇa-upadeśa. Mwe mubunyise ebyo byokka Kṛṣṇa byeyayogera mu Bhagavad-gītā. Ogwo gwemulimu gwabuli muyindi. Caitanya Mahāprabhu agamba.

bhārata-bhūmite manuṣya janma haila yāra
janma sārthaka kari para-upakāra.
(CC Adi 9.41)

N'olwekyo abayindi, abayindi baliwo kulwa para-upakāra. Abayindi tebaliiwo kulinyirira bannaabwe. Ogwo simulimu gwabayindi. Ebyafaayo byabuyindi ebanga lyonna byetolorera ku para-upakāra. Era gyebuvuddeko, abantu okuva mubitundu byensi ebyenjawulo, bajjanga ebuyindi okuyiga ebikwata ku bulamu obwomwoyo. Kabeere Yesu Kristo naye yagendayo kko. N'abalala okuva echina ne mumawanga amalal. Ebyo byebyafaayo. Naye ffe twelabidde ekyobugagga kyaffe. Tetukyafirayo ddala. Omugendo ogwamanyi bweguti, abantu balwana okuteggera Kṛṣṇa nebiragirobye munsi yonna. Naye abayindi baffe bbo tebefiirayo, gavumenti yaffe nayo teyefiirayo. Tebakirabamu makulu. Ogwo gwe mukisa omubi gwetulina. Nayenga ate guno gwemulamwa omukulu Caitanya Mahāprabhu gwayogerako. Agamba nti buli muyindi, bhārata bhūmite manuṣya janma, bwaba muntu, Atekedwa okufuula obulamubwe obutuukirivu nga yeyambisa ebiwandiiko bya Veda. era asasaanye amagezi gano okwetolola ensi yonna. Ekyo kyekiyitibwa para-upakāra. Ekyo Buyindi kyesobola okukola. Atenno abantu basiima. Bano abazungu, abalenzi abato abamerika, bakungiriza obwannaggwano..... Buli lunaku nfuna daziini zamabaluwa, nga boogera kungeri gyebaganyuddwa mumugendo guno. Ddala, ago gemazima. Guno omugendo guwa obulamu eri abo abaafa edda. N'olwekyo nsaba abayindi mwenna, naddala omukulembeze wegwanga, N'obuwobeefu mweyunge kumugendo guno, era mugezeeko okuba abawanguzi mubulamu ate muyambe n'abalala. Ogwo gwemulamwa gwa Kṛṣṇa, kyekireeta Kṛṣṇa kunsi. Mwebale nyo, mwebalire ddala.