LG/Prabhupada 0007 - Obulabirizi Bwa Krishna Bujjakujja

Revision as of 10:05, 3 August 2021 by Soham (talk | contribs) (Created page with "<!-- BEGIN CATEGORY LIST --> Category:1080 Luganda Pages with Videos Category:Prabhupada 0007 - in all Languages Category:LG-Quotes - 1974 Category:LG-Quotes - L...")
(diff) ← Older revision | Latest revision (diff) | Newer revision → (diff)


Lecture on SB 1.5.22 -- Vrndavana, August 3, 1974

Brahmānanda: Brāhmaṇa talina kukozesebwa.

Prabhupāda: Nedda. Wakiri afa enjala. Naye nga tanonyezza mulimu. Oyo ye brāhmaṇa. Kṣatriya naye bwaatyo era ne vaiśya kyekimu. Okujjako śūdra yekka. vaiśya ye anonyaayo ka bizinensi. Afunayo bizinensi gyatandika. Nolwekyo waliwo olugero. Edda enyo waaliwo omwami eyayitibwanga Nandi, e Calcutta, yagenda asabe mukwano gwe nti, "singa osobola okumpolayo aka sente, nsobola okutandikawo ka bizinensi." Oli kwekumubuuza nti, "Oli vaiśya? Omusubuzi?" Ko ono nti "ye ssebo." Ko oli nti "Oh, kati ate sente ozisabanze? Sente ziri eyo kukkubo. Gyoba ozinonya." ko ono nti "Munange zimbuze." Ko oli nti "Zikubuze? Kyekki kyoyogerako?" "Emmese enfu yiiyo." "Oyo ye kapito wo." Ndowooza olaba. Mubiseera ebyo kawumpuli mu Calcutta kawumpuli yali mungi nyo. Abakulira ekibuga nebalangirira nti bwolonda emmese enfu nogireta ku yafiisi ojjakusasulwa annas bbiri. Kale bwatyo nakwata omubiri gwemmese enfu nagutwaala ku yafiisi ye'kibuga. Yasasulwa annas bbiri. Bwatyo mu annas bbiri nasubulamu ebinyeebwa ebyaali bivundiridde, nabyozaako era naddamu nabitunda, ku annas nga nya oba ttano. Mungeri eyo, yakiddingana, neera,neera neera, paka bweyafuuka nagagga. Omu kubava mulujja olwo yali mugandawaffe mukatonda. Olujja lwa Nandi. N'okutuuka kati, olujja lwa Nandi luweza abantu ebina oba ebitaano abateekedwa okufuna ekyokulya buli lunaku. Lujja lunene, olwekitiibwa. Naye nga etteeka ekkulu mulujja luno liri nti amangu ddala nga omwana omulenzi oba omuwala azaalidwa, bateekedwa okuteeka lupiiya enkumi ttano mu banka, era bwatuuka okuwasa oba okufumbirwa, ezo lupiiya enkumi ettano namagoba gaakwo, zimuweebwa. Nga ojjeko ekyo tekyaali byakugabana migabo. Kyokk'era buli abeera mulujja muno, atekwa okufuna ekyokulya n'awokusula. Ebyo byebyabwe... Nayenga ensibuko, kyentegeeza, nti oyo eyatandikawo olujja luno, ayitibwa Nandi, yatandika bizinensi ye na mmesse enfu.

Agonno mazima ddala, mazima ddala, nti omuntu bwaba ayagala okubeerawo nga yetongodde... Mu Calcutta nkirabyeeko. Ne vaiśya omwavu, wakiri kumakya afunayo dal gwatembeeya. Afunayo akasawo ka dal, nagenda njukunju nga atembeeya. Kubanga dal yetagibwa buliwamu. Nolwekyo kumakya akola bizinensi ya dal, ate olweggulo natembeeya amafuta g'ettaala. kubanga ago buly'omu geyetaaga olweggula. Bwekityo bwekibadde e India, bbo... Teri yali anoonya mulumu. Ng'ooli akatono konna kaalina, oba kutunda bunyeebwa. Kyonna kyaakoze. Kubang'era, Kṛṣṇa alabirira buly'omu. Ebansobi omuntu okulowooza nti " Omusajja oyo yandabirira." Nedda. Śāstra zigamba nti, eko yo bahūnāṁ vidadhāti kāmān. Kuba nabwesigwa mu Kṛṣṇa, nti " Kṛṣṇa yeyampa obulamu, Kṛṣṇa yeyansindika wano. N'olwekyo ajjakundabirira. naye nze okusinziira kubusobozi bwange, kambeeko kyenkola, Osanga mwekyo, obulabirizi bwa Kṛṣṇa mwebunaayita."