LG/Prabhupada 0012 - Ensibuko ya'magezi eri mukuwulira

Revision as of 13:28, 4 August 2021 by Soham (talk | contribs) (Created page with "<!-- BEGIN CATEGORY LIST --> Category:1080 Luganda Pages with Videos Category:Prabhupada 0012 - in all Languages Category:LG-Quotes - 1975 Category:LG-Quotes - L...")
(diff) ← Older revision | Latest revision (diff) | Newer revision → (diff)


Lecture on BG 16.7 -- Hawaii, February 3, 1975

Buli omu kuffe tatukiridde Tenyumirizza nnyo mu maaso gaffe: " Ndagga kino" Naye nga amasso gaffe gasobola kulaba ki kyetutagwanidde kulaba? Oli teyebuuza nti " Silina bisaniizo binsobozessa kulaba; era aba ayagala kulaba." Amaaso ganno okulaba gasinziira kubintu bingi. Kati wanno waliwo amasanyalazze nolwekyo musobola okulaba. Naye amasanyalazze bwegavaako temusobola kulaba Kati olwo amaaso gamwe galina mugasso ki? Temusobola kulaba bigenda mu maaso okusukka ekisenge kino.

Nolwekyo tokilirizza mu nketteso z'omubiri gwo nga ensibuuko yamagezi kubanga ekyo ssikituufu. Ensibuko yamagezi elina kuba kuwulira. Ekyo kyebayita śruti. Nolwekyo erinnya lyekivediki liri śruti. Śruti-pramāṇa, śruti-pramāṇa. Nga omwana oba omulenzi bwaba ayagala okumannya ani kitaawe. Obukakaffu buba kki? Obukakaffu obwo bwebayita śruti, obukakaffu abugya ku Nyina. Maama yakugamba nti " Onno yekitaawo." Bwatyo awulira buwulizi naye tayinza kulaba ngeri gyeyafuukamu kitaawe. Kubanga nga omubiri gwe tegunatondebwa kitaawe yaliwo, kati olwo aba yandimulabye atya? Bwotyo nga oyita mukulaba tosobola kumannya Kitaawo yani. Olina okutegezebwa omumannyi era bwatyo omumannyi abeera nyoko akuzaala. Nolwekyo śruti-pramāṇa: obukakaffu obufuna nga oyitta mukuwulira sso ssi mukulaba. Okulaba namaaso gaffe agatatukiridde waberawo ebiziyizzo bingi. Mungeri yemu nga akozesa okumannya kwo tosobola kufuuka ku mazima Okumannya kwo kubeera kutebereza.

Nga Dkt.Wakikere Wakikere nga atebereza. Ssemayanja Atlantic kyeki. Abeera mu luzzi lwa fuuti ssatu munywanyi we namugamba Nti "Owange, nalabye Ssemayanja enenne." Nabuuza nti " Ssemayanja Ki?" Nti " Ssemayanja Atlantic " " Yenkana ki?" Nti "Nenne nnyo." Wakikere bwalowooza nti oba "fuuti nga nnya Balowooza nti oluzzi mwali lwa fuuti ssatu. Ndowooza Ssemayanja oli wa fuuti nnya oba kale taano. Kale ekinenne nnyo fuuti kumi." Kati mungeri enno eyokutebereeza, Wakikere ayinza atya okutegeera Ssemayanja Atlantic oba Pacific? Oyinza okutegeera obuwanvu oba obugazzi bwa Ssemayanja Atlantic oba Pacific nga oyitta mukutebeereza? Tolina kyoyinza kufuna mukutebereeza. Bamazze emyaka mingi nga batebereeza kunsi enno erina emunyenye mmekka, Obuwanvu nobugazi.... Olaba ensi ebalema okutegeera atte olwo ensi eyomwoyo? Eri ewala ennyo.

Paras tasmāt tu bhāvo 'nyo 'vyakto 'vyaktāt sanātanaḥ (BG 8.20). Ojja kusanga mu Bhagavad-gītā nga mulimu engeri endala. Kino kyolaba, ebire obwetoloode obwengula, Wagulu wabyo waliyo emitendera etaano. Kino kyolaba kisanikiira nga bwolaba ekinazzi. Kibeerako ekikutta kungulu naye nga munda mazzi. Mungeri yemu nemukino kyolaba waggulu... Waggulu wakyo waliyo emitendera emilala etaano nga buli gumu gusinga gunagwi emirundi lukumi: Omutendera ogwa mazzi, ogwe'empewo, ogwo'muliro. Oba olina okuyita mu emitendera jinno. Olyoke otuuke kunsi eyo'mwoyo. Ensi zinno zonna ezitabalika, koṭi Yasya prabhā prabhavato jagad-aṇḍa-koṭi (Bs. 5.40) Jagad-aṇḍa kitegeeza nsi. Koṭi, obukadde nobukadde nga bwetumye wamu, eyo yensi enno mwetuli. Ebusuuka nsi enno atte newaabayo ensi eyomwoyo endala. Obwo nabwo obwengula obuyitibwa paravyoma. Nga okozessa enkettesso zo ezomubiri tosobola kutebereeza wadde ekiri kunsi eyo mwezi oba eye njuba, Atte nga ezzo zituli kumpi. Kati olwo oyinza otya okutegeera ebbiri kunsi eyo mwoyo? Obwo buba busiru.

Nolwekyo śāstra egamba, acintyāḥ khalu ye bhāvā na tāṁs tarkeṇa yojayet Acintya kitegeeza ekisuka okutegeera kwo era oba tolina kukayana, kugezaako ku kitegeeza oba okutebereeza. Kubanga obwo bu busiru lwansonga nti tekisoboka. Bwetutyo tugenda wa guru. Tad-vijñānārthaṁ sa gurum evābhigacchet, samit-pāṇiḥ śrotriyaṁ brahma-niṣṭham (MU 1.2.12). Eyo yenambika.