LG/Prabhupada 0013 - Okwenyigiramu esaawa abiri mu nnya

Revision as of 13:50, 4 August 2021 by Soham (talk | contribs) (Created page with "<!-- BEGIN CATEGORY LIST --> Category:1080 Luganda Pages with Videos Category:Prabhupada 0013 - in all Languages Category:LG-Quotes - 1966 Category:LG-Quotes - L...")
(diff) ← Older revision | Latest revision (diff) | Newer revision → (diff)


Lecture on BG 2.49-51 -- New York, April 5, 1966

Yogaḥ karmasu kauśalam (B.G. 2.40). Kauśalam kitegeeza omukugu. Nga wewayinza okubawo abasajja abakola babiri. Omusajja omu nga mukugu nga omulala ssi mukugu. Tugeeze mubyuma mulimu ekikyamu. Omusajja atali mukugu mukukanika ebyuma ayinza okugezaako emisana nekiro, Nga anoonya ekikyamu, naye omukugu byajja ekikyamu akilabirawo, Nagatta obuwaya wano nna wali ekyuma nekitandikirawo. Hrzum, hrzum, hrzum, hrzum, hrzum, hrzum. Olaba? Nga olumu tuteera okufuna obuzibu ne ka teepu likooda kwaffe kano, Era olumu Mwami. Carl oba omuntu omulala najja nakateereza. Bwekityo buli kimu kyetaagako omukugu. Nolwekyo Karma kitegeeza kukola. Tulina okukola. Nga tetukola nomubiri gwaffe nomwoyo tebisobola kubba bulungi. Kikyamu okulowooza nti oli bwaba... eyamala okwezuula mu mwoyo teyetaaga kukola. Aba alina okukola ennyo. Abantu abatanezuula mu mwoyo bayinza okuva nga bakola Okumala esaawa nga munaana zokka, naye abo abamala okwezuula mu mwoyo, Babeera bakola esaawa abiri mu nnya, esaawa abiri mu nnya. Eyo eyenjawulo. Era enjawulo eyo Ojakunsanga nti mubyensi nebyomubiri Bwokola esaawa munaana zokka okoowa nnyo. Naye mu byomwoyo bwokola esaawa abiri mu nnya.... Lwakuba nti esaawa abiri mu nnya oba tozilinawo Naye era tokoowa. Kino kyetegeleraza kunze. Era mbeera nkola nga Nina kyensoma oba kyempandiika. Nga nina kyensoma oba kyempandiika, esaawa abiri mu nnya. Bwempulira enjala nenfuna kyendya. Bwempuliramu otulo nenebaka Naye nga sikoowa. Musobola okubuuza Mwami.Paulo oba bwentyo sibwenkola Nolwekyo nenyumiriza mukyenkola era sikoowa. Mungeri yemu oli bwaba ali mu mwoyo, tasobola kuwulira... Atte aba awulira tayagalira ddala kwebaka, Okwebaka, aba agamba "Otulo tuzze kuntawanya." Ndowoza olaba? Aba ayagala kukendeeza ku budde bweyebaka. Era bwetuba tusaba vande rūpa-sanātanau raghu-yugau śrī-jīva-gopālakau. Ba Gosvāmī omukagga balagirwa Lord Caitanya okunyonyola ensomessa enno. Bawandiisa ebyawandikibwa bingi ku yo. Okilaba? Ojakwewunnya nti bali bebaaka Okumala esaawa emu nekitundu, nga tebasukawo. Nga nolumu nakko bakaleke nebatebakira ddala.