LG/Prabhupada 0001 - Mugaziwe mpaka obukadde Kumi



Lecture on CC Adi-lila 1.13 -- Mayapur, April 6, 1975

Caitanya Mahaprabhu agamba abayigiriza bonna Nityananda Prabhu, Advaita Prabhu, ne Srivasadi-gaura-bhakta-vrnda bonna babunnya biragiro bya'Sri Caitanya Mahaprabhu Nolwekyo gezaako okugobelera ekubbo erya'abayigiriza Olwo obulamu busobole okukwanguyira Atte nokufuuka omuyigiriza (Acarya) ssi kizibu nnyo Ekisooka olina kusooka kubeera omugoberezi era omuwereeza omwesigwa owomuyigirzawo Nga ogobelera nobumalirivu bwakutendeka Ogezeeko okumusanyussa nga bwobunyissa enjiri ya Krishna Ekyo kimala bulungi, ssi kizibu nakatono Gobelera bugoberezi biragiro bya Guru Maharaja wo obunyisse nenjiri ya Krishna Ekyo kyekiragiro kya Mukamawaffe Caitanya

āmāra ajñāya guru hañā tāra' ei deśa
yāre dekha tāre kaha 'kṛṣṇa'-upadeśa
(CC Madhya 7.128)

Nga oyita mukugobelera ebiragiro byange ofuuka Omuyigiriza Era bwetugobelera nobumalirivu enkora enno eyaba' Acarya Nga bwetugezaako nga bwekisoboka okubunnya ebiragiro bya Krsna 02:04 Yāre dekha tāre kaha 'kṛṣṇa'-upadeśa (CC Madhya 7.128). Waliwo Krsna-upadesa za ngeri bbiri Upadesa kitegeeza biragiro Ebiragiro ebiweebwa Krsna biyitibwa Krisna-upadesa, Atte nebiragiro ebikwatta Ku Krishna ebikusomesebwa nabyo biyitibwa Krisna-Upadesa Kṛṣṇasya upadeśa iti kṛṣṇa upadeśa. Samāsa, śāsti-tat-puruṣa-samāsa Ne Kṛṣṇa viṣayā upadeśa, nayo ebeera Kṛṣṇa upadeśa Bāhu-vrīhi-samāsa Eyo yengeri yokunyonyokamu esengeka yolulimi olu Sanskrit Nolwekyo Kṛṣṇa's upadeśa era ye Bhagavad-gītā. Kubanga Krishna aba awa ebiragiro buterevu Nolwekyo okubunyisa kṛṣṇa-upadeśa, wetaaga kuddamu buzzi ebyo Kṛṣṇa byayogera, awo nofuuka ācārya. Sikizibu nakatono. Buli kimu kirambikiddwa mulwattu. Tulina kubiddamu buzzi nga Nkussu Naye singa nkussu. Kubanga enkussu egegeenya bugegeenya nga tetegedde makulu. Naye obeera olina okutegeera amakulu Ekitali ekyo oba onannyonnyola otya? Bwekityo twagala kubunnya njiri ya Krishna Wetegeke bwetegessi kungeri joyinza okuddiramu abalala ebiragiro bya Krishna burungi nga tobivunudde kifuulanenge. Olwo mubiseera ebyomumaaso katugezze nti kati tulina abantu omutwalo gumu. Tujja kugaziwa tuwezze abantu emitwalo kumi Ekyo kyetagiisa. Tumale tuve Ku mitwalo kumi tudde Ku kakadde kabantu Tuve Ku kakadde tudde kubukadde kumi.

Abagoberezzi: Haribol! Jaya

Nolwekyo tewajja kubawo bulla lya ba' ācārya Era abantu bajja kutegeera enzikiriza ya Krishna nobwangu obwekitalo. Nolwekyo mukole enteekateeka eyo Temudda mukwempaka okutaliimu Mugobelere ebiragiro bya ācārya Atte mugezeeko okwegolola okuva munsobi, nokweyisa mungeri yekintu ekikulu Lwemujja okwanguyirwa okulwanyisa māyā Ba Ācāryas balina okulangilira olutalo Ku bikolwa bya māyā