LG/Prabhupada 0003 - No'musajja naye abeera Mukazi



Lecture on SB 6.1.64-65 -- Vrndavana, September 1, 1975

Prabhupāda:

tām eva toṣayām āsa
pitṛyeṇārthena yāvatā
grāmyair manoramaiḥ kāmaiḥ
prasīdeta yathā tathā
(SB 6.1.64)

Bwatyo bweyamala okulaba omukazi, yaberanga mukwefumintiriza okomwoyo buli kiseera okumala esaawa abiri mu nnya Ku mulamwa ogwo, obukaba. Kāmais tais tair hṛta-jñānāḥ (BG. 7.20). Omuntu bwakabawala aba takyategeera. Ensi yonna kati etambulira kubukaba Ensi enno. Kubanga ndi mukaba, naawe oli ofuuka mukaba, na buli omu, Ebyetaago byange bwe bitatukirizibwa nebibyo ngatebitukirizibwa Olwo ngafuuka mulabe wo naawe nga ofuuka mulabe wange. Mba sikyayagala kukulaba nga okulakulana. Naawe nga tokyayagala kulaba nga nkulakulana Enno ensi ejudde ensalwa, obukaba, kāma, krodha, lobha, moha, mātsarya. Bwetyo ensi bweri Era bwatyo bweyafuuka

Sso nga yali yetendeeka kuba brāhmaṇa, śamo, dama, bwatyo naddilira olwokuba omukazi Kyova olaba mu nzikiriza yeki Vediki, omukazi atwalibwa nga ekiziyizza eri okukirizza kwomuntu. Era obulamu bwekivediki bwonna bujudde ngeri yakwewalamu... Omukazi... Era tolina kulowooza nti omukazi kitegeeza omukazi yekka. Nomusajja naye era abeera mukazi. Tolowooza nti omukazi akolimirwa atte omusajja nataba. Omukazi kitegeeza oyo gwebanyumirwa atte omusajja ne kitegeeza oyo anyumirwa. Nolwekyo enno endowooza ssi ntuufu. Nti bwenfuna omukazi omu owokunyimirwa olwo nfuuse omusajja. Olwo nomukazi bwafunayo omusajja owokunyumirwa nafuuka omusajja. Omukazi kitegeeza gwebanyumirwa atte omusajja ne kitegeeza oyo anyumirwa. Nolwekyo oyo awulira okunyumirwa ye omusajja. Bwekityo ebitonde byombiliri biliwo... Buli omu ateekateeka, " Nanyumirwa ntya?" Olwo nafuuka puruṣa, owobukuusa. Naye nga ffembi tuli prakṛti, jīva, oba mukazi oba musajja. Obutonde bwaffe bulinga lugoye lwakungulu.