LG/Prabhupada 0006 - Buly'omu yeyita katonda - Okwesiima kw'abassiru



Lecture on SB 1.15.49 -- Los Angeles, December 26, 1973

Buly'omu yetwalira waggulu, nti "Nze manyi. Nze manyi bulikimu. Nolwekyo setaaga kugenda wa guru." Eno yenkola eyitibwaamu okutukirira guru, omuyigiriza: Kiriza, nti " manyi ebyekissiru bingi ebitalina mugaso. Kati nkusaba onsomese." Kino kitegeza kwewaayo wenna. Nga Arjuna bweyagamba, śiṣyas te 'haṁ śādhi māṁ prapannam (Bg. 2.7). Mukukayana okwaliwo wakati wa Arjuna ne Kṛṣṇa, kyokka ensonga bweyagaana okuggwa, Arjuna yewaayo eri Kṛṣṇa, "Owomukwano Kṛṣṇa, kati twogera nga bamikwano. Emboozi ya'bemikwano esaana eggweewo. nkukkirizza nga omuyigirizaawange. Bambi njigiriza kiki kyenina okukola." Eyo ye Bhagavad-gītā. Nolwekyo buly'omu alina okuyiga. Tad-vijñānārthaṁ sa gurum eva abhigacchet [MU 1.2.12]. Veda ekulagira webuuze, nti amakulu go'bulamu kyeki? Bukyukyuka butya? Tuva tutya mumubiri ogumu okudda mumulala? Nze ndi kiki? Ndimubiri guno oba nsingawo, kukintu ekimu? Bino ebintu biteekeddwa okwebuzibwa. Obwo bwebulamu bwomuntu. Athāto brahma jijñāsā. Kuno okwebuuza kwandibadde kukolebwa. Wabula muguno omulembe gwa Kali-yuga, awatali kumanya, awatali kwebuuza, awatali muyigiriza no'mu, awatali kitabo kyonna, buly'omu yeyita katonda. Awatali kuwakanyizibwa. Kino kyekigenda mumaaso, mukwesiima kwabasiru. Wabula kino tekijja kuyamba. Wano, kubya vidura.... Era naye...

viduro 'pi parityajya
prabhāse deham ātmanaḥ
kṛṣṇāveśena tac-cittaḥ
pitṛbhiḥ sva-kṣayaṁ yayau
(SB 1.15.49)

Yali... Mbadde njogera kubya vidura. Vidura yali Yamarāja. Nolwekyo omuntu omutukirivu yasibibwa mumaaso ga Yamarāja aweebwe ekibonerezo. Wabula omutukirivu ono bweyebuuza ku Yamarāja, nti "Nze... Sijjukira nti nali nyononyeeko mubulamuubwange. Lwaki bandeese mukaguli?" Yamarāja yamuddamu nti " Tojjukira bujjukizi. Mubutoobwo watta enswa nga okozesa empiso bwewajifumita mulubuto. Nolwekyo olina okubonerezebwa." Kale nolaba. Mubuto, mubutamanya, olwokubanga era yayonoonayokko, atekeddwa okubonerezebwa. Naye ffe mukweyagalira, etteeka lyeddini tuliwakanya erigamba nt "Tottanga." Tugguddewo enkuminenkumi za lufula,, ng'eno bwetwekwasa enjogera eyekissiru mbu ebisolo tebirina myoyo. Kale nolaba okwesanyusa. Era kino kigenda mumaaso obutakoma. kyokka mbu twagala tubeere mumurembe.