LG/Prabhupada 0011 - Osobola okusinziza Krishna mu'bwongo bwo



Lecture on BG 4.28 -- Bombay, April 17, 1974

Mu Bhakti-rasāmṛta-sindhu, mulimu olufumo.... Naye ssi lufumo bufumo. Byaliyo. Kinyonyolwa nti mukitabo ekyo nti waliyo brāhmaṇa omu eyali omukiriza owamaanyi ennyo Yali ayagala kuwereza musinzizzo, nga akola arcanā, mukusinza. Naye nga talina sente. Naye lumu yali ali mukibiina ekisomesa Bhāgavata nawulira nti Kṛṣṇa asobola okusinzibwa nemubwongo. Nakozessa omukisa ogwo kubanga yali akilowolezaako ebbanga ddene engeri jayinza okusinzaamu Kṛṣṇa obulungi ngatte talina sente.

Bwatyo bweyawulira nti Kṛṣṇa osobola okuminsiziza mubwongo, Nga amazze okunaaba mu mugga Godāvarī, yatuula wansi womuti Mubwongo bwe natandiika okuzimba namulondo eya siṁhāsana, Najijuuza amatiribonna era natuuzako Ekisinzibwa natandiika okunaaza nga akozesa amazzi okuva mu migga Ganges, Yamunā, Godāvarī, Narmadā, Kāverī. Natandiika okwambaza ekisinzibwa obulungi, nga bwakisinza nebimuli, nengule eyebimuli.

Era nafumba bulungi, paramānna, nomuceere oguwooma. Nayagala alyeko alabe oba byokya Kubanga paramānna bamulya anyogogga sso ssi nga ayokya. Nakwata nengalo zze ku paramānna, engalo nezijiirawo Olwo okufumitirizza kwe nekukomaawo kubanga tewali kyaliwo mu buliwo Naye nga mubwongo bwe buli kimu yakikola Atte mubyaddala natunulira olugalo lwe nga luyidde neyewunnya nnyo.

Era olwa kino Nārāyaṇa ngali mu Vaikuṇṭha yali amwennya. Lakṣmījī namubuuza " Lwaki omwennya?" " Kubanga omu kubakirizza bange asinza mungeri enno. Era tumma basajja bange bamuleteerewo mu Vaikuntha."

Nolwekyo bhakti-yoga nungi nnyo Nti nebwoba tolina ngeri yakuwereezamu ekisinzibwa Osobola okukikolera mu bwongo. Nakyo kisobooka.